|
Nabikoowa - Juliana Kanyomozi - Lyrics |
|
|
|
Intro
Hey, ooh ndifuna omulala Eh, ah
Verse one
Ekintu kyolina oba okivuluga Bwokimala nekigwaawo Olwo noopapa Newejjusa nti singa nakifaako Bwenzijukira ebiseera ebyo Amaziga neganyunguka Wanjoogajooga nyo Nange sirikuddira Nze nakwesonyiwa nemmala Nememe yange neekuta Okukwagala yali nsobi Ndayira sirikuddira
Chorus Nebwolikola otya Wampisa bubi nange nenkukyawa Ebyokulumwa omutima olukedde Nabikoowa nange X 2
| Verse two Bwennakulaga omukwano ogujudde Wampita ffala Walowooza ndibye Nobeera bwotyo nga ondibaga So nga abaneegomba ntoko Ndi mutto era mbakuba nyo Wansubya nabingi nyo bwendaba Wali wafuuka enkomera gyendi Abalungi bangi Ndifuna omulala kanoonye Tebampima kugwe nti abalala Tebantuuka
Chorus
Verse three
Kati omutima ogwange Ngukuuma nyo Wenamanyiira wo navaawo gyenakoma okwagala enyo Gyenakoma okukyawa Obulumi bwewampisaamu Amaziga amangi agaakulukuta Mpozzi nga ngudde ddalu Siyinza kukudira no, no nedda
Chorus till fade
|
Related Items:
- A Little Bit of Love - Uganda
- Juliana Kanyomozi - profile
- Nabikoowa - Juliana Kanyomozi
|
|
|
Last Updated ( Tuesday, 11 September 2007 )
|